Ssegawa Lukman agenze Mecca ne Madina Kati Hajji

Ssegawa_Vincent_inMeccaEyaliko omuyimbi owamaanyi owa kadongokamu wano mugwanga Vincent Ssegawa kati nga yeyita Luqman Ssegawa oluvanyuma lwokuva muddini ye eyobukatoliki nasiramuka ayolekedde okufuuka ‘Hajji’.
Ssegawa eyakuyimbira obuyimba nga Sisiri, Ssapuli, Balemedwa okwekolera, Nzijja nendala nyiinji ntono nyo yasiramuka nasaba nokusaba nti buli radio, Tv, nabantu sekinoomu abayina enyimba ze bazizangule bunambiro ne kumikutu gyimugata bantu (Internet) kubanga obusiramu tebukiriza kuyimba .
Ssegawa eyakazibwaako erinya lya Master olwenyiimba zeyayimbaanga eziyigiriza yagenze kulamaga Mecca era wanaviirayo ng’afuuse Hajj awedde emirimo.
Ssegawa yebaziza buli muntu amuyambyeeko okulabika ng’atuuka kukkula ngalino. Kinajjukirwa nti gyebuvuddeko yakwatibwa abe’byokwerinda nebamusibira e bbombo ng’abamusubira okwetaba mubikorwa byobuyekera nebatuuka nokumubika nti afudde ekintu ekitanaba kutegereke oba omusango gyebamuvunana mituufu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *