“Museveni yeyata Ben Kiwanuka” Hussein Amin.

Hussein Lumumba Amin mutabani wa Idi Amin Dada eyaliko omukulembeze we ggwanga alumiriza Omukulembeze we ggwanga Yoweri Kaguta Museveni okumanya enfa y’eyaliko Ssabalamuzi wa Uganda Benedicto Mugumba Kiwanuka.
Kino kidiridde emikolo eggulo okwatongozedwa ekijjukizo kya Ben Kiwanuka.

Ben Kiwanuka yawambbibwa n’abuzibwawo ku mulembe gwa Idi Amin Dada era taddangamu kulabika okuv’olwo.
Ku mukolo guno, omukulembeze we ggwanga yagambye nti Ben Kiwanuka naye gumusinga kuba yakiriza okola mu Gavumenti ya Amin gyeyali amanyi nti yali tegoberera nkola nungamu.

Wabula Hussein Lumumba asinzidde ku kimu ku bibanja bye ku mutimbagano nagamba mbu namba plate ze motoka ezalina akakwate n’okubuzibwawo kwa Ben Kiwanuka zasangibwa n’Omukulembeze aliko kati mu bitundu bye Mbale era ekyadirira kwali kuwanyisaganya masasi na be by’okwerinda mu biseera ebyo mu myaka gye nsanvu.

Lumumba Amin alaze ne namba plate ezogerwako wabula abamu kubanukudde ebigambo bya Lumumba ku bubaka bwe ku kibanja kye bamubuuziza ate ye Lumumba engeri gyeyajja ate okuba nti namba plate eyo yagirina kati.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *