Ssaabasajja Kabaka asisinkanye Museveni kunsonga zettaka.

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne Yoweri Museveni .

Olunaku olwalero nga 3, omwezi ogwomunana Ssaabasaja Kabaka wa Buganda Ronald Muwende Mutebi II asisinkanye omukulembezi w’egwanga lya Uganda Yoweri kaguta Museveni Tibuhaburwa mumaka gobwa president e Nakasero.

Magulunyondo yawerekerwako Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga, Omulangira David Kintu Wasajja n’omutaka Namwama Augustine Mutumba.

Gyebuvuddeko Ssaabasajja ngajaguze emyaka 28 gyamaze ng’alamula kunamulondo yayogere kunsonga ze ttaaka lya mailo, omukulembeze wegwanga lya Uganda ngayakalayira ekisanja kino yagamba nti eteeka lya lye ttaka elya Mailo land lisanye riveewo, kino kitadde abaganda kubunkenke ngabagamba nti singa museveni agyawo mailo land abera agyakuba asanyizaawo obwakabaka bwa Buganda.

Akafubo kano kisubirwa nti kabadde kakusala ntoto zakugonjola ensonga zino. Museveni agamba nti enkola ya mailo land yelese enkayana kuttaka mu Buganda era yeremeseza enkulakulana eyomuggundu. Wabula Mayiga yamwanukula nategeza nti amateeka agatakola gegazingamiza enkulakulana so sinkola ya mailo land.

Bano abakulembeze bombi engambo zize zibungesebwa okuyita kumikutu egyenjawulo nadala egya sosolo mediya ngayibabika nti baafa naye leero basisinkanye. Byona ebyabadde mulusisinkana luno tugyakubikutusaako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *