Owa Booda abadde ayambala ebya Polisi natwaala abasabaze ejinja akwatidwa.

Wilbron Baleta Ku CPS e Jinja/ekifananyi Kya Radio Simba.

Ng’abaganda bwebagamba nti enaku z’omubbi ziba ana (40) zoka. Polisi eJinja ekutte omuvubuka omuvuzi wa booda ategerekese nga Wilbron Baleta abadde ayambala ebyambalo bya polisi nasabaza abantu okuva mubitundu bye kampala nabatwala e Jinja bino byabaddewo nga 21/06/2021.

Baleta abadde ayambala ebyambalo bya polisi nayita ku misaanvu egyenjawulo kuluguddo, naye kuluno yagudde mubabuufu nebamusoya kajojijoji webibuuzo nebimulema okwanukula okukakana ngakwatidwa kati atemezza mabega wa mitayimbwa ku Central Police Station (CPS) mu kibuga kye Jinja.

Okusinzira kumudduumizi wa polisi e Jinja Mourice Niyonzima, omukwaate yabadde aweese omusabaze okuva e Nansana mu Wakiso disitulikiti era ng’amusasudde emitwalo kumi (100,000). Niyonzima ategezeza nti Baleta wakuvunanibwa emisango egyenjawulo okuli okweyita kyatali, okumenya amaterekero ga gavumenti (sitowa) nagyayo ebyambalo bya polisi (unifoomu), nokwenyigira mubikorwa ebimenya amateeka.

Enswa byekyuusa amaaso nga naawe okyusa envubo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *