Video: Ebya Butida ne Sipapa bikaaye maama we alibubi.

Butida ne mama we.

Maama wo muyimbi eyayimba akayimba ka bakabassajja banyuma amanyidwa nga Makumbi Ashraf abaanji gwebamanyi nga Record Elah Butida allajjanidde abazira kisa abamumanyi bamuyambe bataase omwana we ono.

Kino kiddiridde okuwulira amawulire agagamba nti Butidda yandiba ng’ali mukomera era bamusibye n’omugaga omuto owomukibuga Charles Olim abasinga gwebamanyi nga Sipapa kumisango egyeekuusa kukubera n’emundu mubumenyi bw’amateeka.

Bino olwagudde mumattu ga maama we olwo naatya nyo neyekubira enduulu eri buli muzirakisa ayinza okumuyambako omwana we bwaba ali mukomera bamuyambe avveyo kubanga abadde yamulabirira n’omwana we.

Butidda yayatikirira oluvanyuma lwokuyimba akayimba kabakabassajja banyuma akaatambula kumitimbagano nasaba abasobola okumutekamu sente, awo sipapa weyamumanyira natandika  okumupulomotinga era babadde batambula bona, mu sabbiti eno sipapa yakwatidwa natwalibwa mukomera ekireka okumunonyerezaako, kigambibwa nti ne Butida bandiba nga bamutwaliddeko.

Sipapa azze akwatibwa kumisango gyegyimu gyino ojjokubera nemmundu era n’omwaka oguwedde yakwatibwa mubitundu byekamwokya ngalina emundu naye ku police teyasula yo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *