Owa bodda akubidwa esasi kumutwe nafirawo.

wano omuserikale weyakubidde owa bodda esasi

Omuserikale w’egye lya UPDF kuddala lya private ategerekese nga Denis Oguro avudde mumbeera nakuba omugoba wa bodaboda ategerekese nga John Kugonza esasi kumutwe erimukiriza emagombe, bino bibaddewo ku bbalaza nga 14, 06, 2021 kukyalo kibede mu disiturikiti ye kabarole kukubo eriva mukibuga kye Fortpotal okudda e kasese kumpi nensalosalo Za kabarole ne Bunyangabu disitulikiti.

Aberabiddeko n’agabwe batutegezeza nti Kugonza abadde aweese omukazi ku pikipiki ngagezaako okusala ensalo songa ate Purezidenti Museveni yasaawo eteeka kyobutetantala kusala nsalo za disitulikiti mukugezaako okutangira okusasaana kwekirwadde kimpawo atalikaaba kovidi19.

Okusinzira ku polisi yomukitundu egambye nti omuserikale abadde agezaaka okwelwanako kumuvuzi wa bodda ono abadde ataamye okukira engo ng’abadde amazze nokumutomera, polisi egenze mumaso netegeza nti Oguro ali mudwaaliro ajjanjaba biwundu naye bamutaddeko empingu bwanavaayo abitebye lwaki yasse omuntu.

Abatuuze b’omukitundu kino bategezeza nti polisi emisanvu yagyiteeka munda mu diditulikiti ye kabarole so simunsalo kukatundu kebayita Mahomi nga Museveni bweyalagira, bongeddeko nti abaserikale basuse okwagala mutabani w’omusiramu bumaali (ensimbi) ngakyekibaletedde obukaambwe n’amaanyi agasukiridde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *