Besigye awadde amagezi gokulwanyisa kovid19 ng’akukute.

Eyaliko omukulembeze wa FDC. Col Kizza Besigye.

Eyaliko omukulembeze wekibiina kya Forum For Democratic Change (FDC) era nga azze yesimbawo kubukulembeze bwegwanga lya Uganda Col. Dr. Kizza Besigye avuddeyo nga 14, 06, 2021 nategeza abantu mukasera kano akakazigizigi aka kovid19 okwettanira okweyoteza genkola yokuyambako okuziyiza ekirwadde kisenyiga omukambwe ekifuuse namulanda ng’amabeere g’embwa.

Mubigambo bye agamba nti “singa kovid19 akuyingira nozibikira enyindo, notandika okuziyira osobola okwoteza naye nakubiriza abantu okubera abegendereza wadde nga kino abasawo bakiwakanya nti minisitule yebyobulamu tenaba kukitongooza. Bino yabyogedde eri banamawulire kwosa ne ku Tv emu ngabamukyaziza.

Besigye yavaayo nategeza nti tewali ngeri yakwewalamu kirwadde kino kubanga kitambulira mukibuyaga, nayongerako nagamba nti abantu betanire nyo okulya ebibala ebyongera abaserikare ababalwanyisa obulwadde mumubiri okugeza emiyembe, eniimu, emicungwa nokukozesa katungulu cumu.

Kyoka Besigye agamba anti abasawo bavumirira enkola eno eyokwoteza ate nga tebavuddeyo nakulungamya bantu nangeri yona eyokubayamba mubisera bino nga kovidi atambulira kumisinde gyayiriyiri.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *