Museveni alagidde URA eddize Bobi Wine emotooka ye etayittamu masasi mubwangu ddala.

Mu mwezi ogwokubiri omukulembeze wekibiina Kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi abaanji gwebamanyi nga Bobi Wine yategeeza egwanga ng’abantu bwebasoonda sente nebamugulira emmotoka ettayitamu masasi eyekika Kya V8 land cruiser oluvanyuma lwokufa nokuwoona kweyayittamu ng’awenja akalulu.

URA bagyibowa era bamugamba nti omusolo gweyasasula gwa motooka zabulijjo songa ate emootoka ye teyitamu masasi (bullet proof) kigambibwa nti yali asasudde sente 157,923,502 kyoka nga motooka ezitayitamu masasi zisasula sente obukadde 337,698,776.25, Bobi wine nasasulako sente obukadde, 88,612,.27 nasigalang’abanjibwa sente obukadde 249,086,749.25.

Olunaku olwalero ekiwandiko kifulumye okuva mu URA ng’akiraga nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yasabye URA emuddize emotoka ye era nategeza nti sente zona zebamubanja wakuzisasula .

Olowoza lwaki Museveni akozze ekintu ekyo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *