Momo 19 atwala Daxx Kartel mu kooti lwa luyimba lwaki wagaba “enswa zange”.

Daxx Kartel and Momo 19

Omukozi w’oku TV amanyidwa nga Moureen Naluwooza abaanji gwebamanyi nga Momo 19 ng’akola ku BBS Terefayini avuddeyo nayogera ensonga lwaki yayawukanye ne bbaawe Sulaiman Ssebunya abasinga gwebamanyi nga Daxx Kartel.

Momo 19 agamba nti obutakaanya bwabwe bwatandika dda era babadde balemagana dda okukwatagana naye nga Daxx Kartel tanavaayo okutegeeza ensi ng’abwebayawukuna.

Momo 19 yeganyi okubera mumukwano n’omuvubuka amanyidwa Medi More abeera e South Africa ara nagamba nti tamumanyi era tamusisinkanagako. Daxx Kartel tankwatangako n’amusajja yena oba okundabako ngankukuta n’omusajja omulala yena , buli bwenninya enyonyi tukaanya era nemutegeeza gyemba ndaga.

Momo 19 agamba nti singa Daxx ne maneja we babadde balina sente abadde agenda kubatwala mumbuga z’amateeka abavunane kulw’oluyimba olumanyidwa nga “Enswa”, Daxx mweyagambidde nti lwaki yagaba enswa ze ngakigambibwa nti yensonga lwaki bayawukanye ne mukyala we gwebamaze bombi emyaka egyiwera omukaga (6).

Daxx Kartel yaganyi okuvaayo pkwogera kunsonga zino ng’agamba ensonga z’amaka ye tazitwala mumawulire.

Video yino:

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *