Ssabasajja Kabaka asiimye okwogerako eri obuganda ng’akozesa omukutu gwa Zoom conference.

Okuva Ssabasajja kabaka w’a Buganda Ronald Muwenda Fredrick Mutebi II lweyasiima nalabikako eri obuganda  ng’akuza amazalibwage agomulundi ogwe 66 ebigambo binji bibadde biyitingana okwetolola egwanga lyona era kino kyava kumbera Maggulu Nyondo gyeyalabikiramu nenfananaaye eyewunyisa banji abamu nebatuuka nokwooza kumunye.

Binji byayogerebwa naddala okuyita kumikutu ejjemitimbagano nga kigambibwa mbu Nanyinimu yawebwa obutwa era bwebumunyunyuta okumutuusa kweyo embera etawoomya ddigobe, Abaganda n’ abagaliza obuganda ebirungi bagenda mumaso okukunya Katikkiro wa Buganda owekitibwa Charles Peter Mayiga avveeyo anyonyole ensonga lwaki tebatwala Kabaka emittala wamayanja okufuna obujanjabi obwekikugu.

Wabula, Mayiga yavaayo nayita olukungaana lwaba mawulire nategeza nti Musota alina obulwadde bwa alajje (allergy) era bwebumusumbuwa ng’omuntu omulala yena,nty’era abasawo abakugu bamujjanjaba ajjakuwona , ekintu ekitasanyusa banansi abagala obuganda ngabagamba nti katikkiro alimba Kabaka yetaaga kutwalibwa mumawanga gabazungu afunne obujjanjabi obusingako.

Mayiga byeyongera okumwononekera abantu ngabatandise okumujjamu obwesigwa ngabagamba nti akolera Museveni era alimulukwe olwokusanyawo Ssabasajja. Okusinzira kububaka obuteredwa kumukutu  gwa 88.8 CBS fm ogw’obwenyi bwekitabo (Face book) butegezeza nti Maaso mooji asiimye okwogerako eri obuganda nga 29 omwezi guno ng’akozesa enkola yatekinologiya emanyidwa nga zoom conference.

Mungeri yeemu nga 31 omwezi ogw’omusanvu maasomoogi era asiimye akulize amatikkirage ag’omulundi ogwa 28 musazzalye erye Buddu mu Lubiri lwe e Nkoni.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *