Katikkiro wa Buganda Peter Mayiga agambye nti Kabaka simulwadde alina alajje.

Katikkiro ng’agenda kwogerako eri banamawulire

Akatambi ka Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ii akasasanira ku mittimbagano gyebuvuddeko ng’ enaku zomwezi  13 omwezi ogwokusatu  kulunaku Nyinimu  lweyalabikako eri Obuganda ku mazalibwa ge agemyaka 66 ngakoleka Kabaka bwaali mumbera embi enyo, kaletedde Katikkiro wa Buganda Owekitibwa Charles Peter Mayiga okuyita olukiiko lwa bamawulire ategeze Obuganda embeera Ssabasajja mwali.

Okusinzira ku Mayinga, Ssabasajja Simulwadde nga bwebigambibwa nokubungesebwa kumitimbagano nti Maaso Moojji yawebwa obutwa. Mayiga agamba nti Kabaka abadde atawanyizibwa alajje era nga alajje aretebwa emmere gyetulya, empumbu eva kubimuli, enfufu nebintu ebirala binji . Mayiga agenze mumaso nategeza nti obuzibu bwa alajje bumuletera obuzibu mukusa  naddala ng’ayambadde akakokolo .

Ago amawulire gabulimba tegayina nsa Kabaka ayina abasawo abakuggu abagenda mumaso kumwekebejja nokumujjanjaba era mukiseera ekitari kyawala ajjakuba atteredde era nabasaba obutagendera kungambo ezitayina mutwe namagulu .Wangala ayi beene. 

One Reply to “Katikkiro wa Buganda Peter Mayiga agambye nti Kabaka simulwadde alina alajje.”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *